ABASAWO b'eddwaaliro ekkulu ery'e Mbarara bakungubagidde omulwadde waabwe abadde amaze emyaka mukaaga ng'ali mu kasenge k'abalwadde abayi; Intensive Care Unit (ICU) eyafudde.
Clare Kirabo Clare nga yali mukozi ku disitulikiti y'e Lwengo mu ofiisi ya RDC ye yafudde ku Mmande akawungeezi oluvannyuma lw'okumala emyaka egyo gyonna, ng'ajjanjabibwa mu nkola y'abalwadde abayi.
Akola ng'omukulu w'eddwaaliro lino, Dr. Deus Twesigye, yategeezezza nti, omugenzi yaleetebwa mu ddwaaliro lino nga August 19, 2020 oluvannyuma lw'okusindikibwayo ab'eddwaaliro ly'e Masaka nga kigambibwa nti yali afunye obuvune ku mubiri oluvannyuma lw’okugwa mu nju ye.
Dr. Twesigye yagambye, ab'e Masaka baamusindika e Mbarala kubanga mu kiseera ekyo mu ddwaaliro e Masaka tewaali kyuma kya CT Scan. Bwe yatuusibwa e Mbarara baamutwalirawo mu ICU, gye baamuggya okumukebera ne bazuula nti yali afunye okukosebwa ku mubiri gwe nga puleesa eri wansi, (Neurogenic shock) nga yakosebwa enkizi, amawuggwe nga gagenzeemu amazzi, yakosebwa ku bwongo n'ebirala. Abasawo baategeeza abantu be nti balina okuba abagumiikiriza olw'ebbanga eddene lye bagenda okumala mu ddwaaliro nga omuntu waabwe ajjanjabibwa.
Yasiimye Gavumenti olw'okubawa ebikozesebwa mu kasenge k'abayi ebiyambye ennyo okulaba nti bajjanjaba Kirabo, wadde nga teyasobodde kuwona. Yagambye nti ssinga abooluganda baali baakusasulira obujjanjabi, buli lunaku bandibadde bawaayo obukadde busatu kye yagambye nti, tekyandisobose okumala emyaka egyo gyonna.
Kirabo yatwalibwa mu ddwaaliro mu 2020 ng'alina emyaka 27 nga w'afiiridde ng'alina emyaka 33. Yaziikiddwa ku Lwokubiri e Kagongi mu Town Council y'e Rubindi mu disitulikiti y'e Mbarara . Kitaawe, Gumisiriza Kamiri yasiimye Gavumenti n'eddwaaliro olw'okubabeererawo okumala ebbanga lino lyonna