Amawulire

KKOOTI enkulu mu Kampala etaddewo olwa July 24,2026 okuwulira okusaba kwa Lukwago okweyimirirwa

KKOOTI enkulu mu Kampala etaddewo olwa July 24,2026 okuwulira okusaba kwokweyimirirwa okwateereddwamu eyali loodi mmeeya Ssalongo Erias Lukwago.

Lukwago ng'ali mu kkooti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI enkulu mu Kampala etaddewo olwa July 24,2026 okuwulira okusaba kwokweyimirirwa okwateereddwamu eyali loodi mmeeya Ssalongo Erias Lukwago.

Bannamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwamu munnamateeka Medard Lubega Sseggona baataddemu okusaba ne banjula ensonga ezenjawulo kkooti kweba esinziira okuyimbula Lukwago awoze ng'ava bweru.

Balambuludde nti Lukwago mulwadde asaanidde okuyimbulwa afune obujjanjabi. Baataddeko bbaluwa zabasawo okuva mu ddwaliro e Mulago abeekebejja Lukwago ne bazuula nga tebasobola kumuwa bujjanjabi ku ndwadde ezimuluma ng'ate n'ebyuma byebamussaamu mu mugongo tebasobola kubyetantala okuggyako abaabissaamu bebasobola okuddamu okubyekebejja.

Era bongeddeko nti Lukwago Alina amaka agenkalakkalira e Wakaliga mu munisipaali ye Lubaga, omusango ogumuvunaanibwa gweyimirirwa mu kkooti enkulu.

Ensonga endala bagamba nti baleese abeeyimirira abasaanidde. Bebaleese okweyimirira Lukwago kuliko omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke, muganda wa Lukwago Hajji Ssewankambo neyali omubaka wa Lubaga South Moses Kasibante.

Okusaba kwa Lukwago kuteereddwa mu kkooti yomulamuzi Moses Matovu y'agenda okuwulira nga July 24,2026

Tags: