Amawulire

Kampeyini z'abakyala zifundikiddwa mu bbugumu

KAMPEYINI ku kifo kya Nabakyala e Mutungo zooni II zikomekkerezeddwa wakati mu bugumu avuganya ku kifo kino, Milly Nabaggala Sumin bw’ayisizza ebivvulu okwetoloola ekyalo kyonna n’asannyalaza emirimu nga bw’awerekerwako abawagizi be wakati mu ssanyu.

Nabaggala (akutte) akazindaalo wakati nga ali n'abawagizi be
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

KAMPEYINI ku kifo kya Nabakyala e Mutungo zooni II zikomekkerezeddwa wakati mu bugumu avuganya ku kifo kino, Milly Nabaggala Sumin bw’ayisizza ebivvulu okwetoloola ekyalo kyonna n’asannyalaza emirimu nga bw’awerekerwako abawagizi be wakati mu ssanyu.

Nabaggala akutte akazindaalo nga ali n'abawagizi be

Nabaggala akutte akazindaalo nga ali n'abawagizi be

Nabaggala atalina kibiina mw’ajidde nga akabonero ke Mupiira, ategezezza nga bw’asanze okusomoozebwa olw’abamu ku bamuvuganya ababadde bagenda babungeesa ebigambo nti tabeera mu kitundu kino n’abiwakanya era n’akabatema nti bino babyogeza bukyayi kubanga ye abadde mu kitundu kino emyaka mingi nga n’okulondera mw’azenga alondera.

Kyokka ono aweze okukola kyonna ekisoboka okulaba nga embeera z’abakyala zitumbulwa naddala bwekituuka ku mbeera z’ebyobulamu nga n’abavubuka abawala balina ebyabwe ebibasomooza ebirina okukolebwako.

Nabaggala akutte akazindaalo ku ddyo nga ali n'abawagizi be

Nabaggala akutte akazindaalo ku ddyo nga ali n'abawagizi be

Yekokodde abantu ababadde bazanyisa ensimbi z’omuwi w’omusolo nga balemererwa okukolera abantu olwo bo nebayisaawo ebyabwe.

Nabaggala akukulumidde abo bonna abogera ebigambo eby’obulimba nti abo bagenderera kutabula nga tebalina kubafaako.

Oluvannyuma Nabaggala agumizza abakyala nga bw’agenda okulwana ku mbeera zaabwe naddala nga ayita mu kubateerawo embeera ebasobozesa okukola emirimu gyabwe nga tebatataaganyiziddwa

Tags: