Abantu basatu abagambibwa okubba ente 10 okuva e Kiboga, babakwatidde Kassanda n'ezimu ku nte wamu n'ennyama embaage.
Kigambibwa nti bambega babalinnye akagere ne babakwatira ku kyalo Kamando e Bukuya e Kassanda n'ente ssatu wamu n'endala bbiri embaage era ne batwalibwa ku poliisi e Bukuya.
Abakwatiddwa, kuliko John Ssebiranda 24 , Andrew Ggita, ne Amos Byamukama 24. Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti oyo yenna atambuza, abaaga, agula n'eyeenyigira mu kubba ebisolo ,abeera n'omusango era waakukangavvulwa.