POLIISI ekoze kikwekweto mw’ekwatidde abasajja babiri ababbye mmotoka ne bagikyusa ebigikwatako ne bagezaako okuddamu okugitunda.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti oluvannyuma lw’okubba mmotoka e Wakiso poliisi yatandise okunoonyereza okwavuddeko okukwata abasajja babiri Abdul Karim Mugisha ne Umar Ssekidde nga bano kigambibwa be baagibbye ne bagitwala ne baggyako nnamba puleeti entuufu UAM 481 J ebateekako endala UAG 959 L era nga babadde baginoonyeza abaguzi.
Yagambye nti abasajja bano mmotoka olwagibba baagitwala mu paakingi e Kasangati gye yakukunuddwa oluvannyuma n’etwalibwa ku poliisi e Wakiso nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso n’okukwata abantu abalala abeenyigira mu musango.
Owoyesigyire era yagambye nti poliisi e Wakiso yazudde pikipiki 15 ezigambibwa okubeera enzibe ezaasangiddwa nga zikuumirwa mu paakingi.
Yagambye nti poliisi yafunye amawulire nti waliwo pikipiki ezikuumirwa mu Prime Day and Night Parking e Wakiso abaserikale ne bagendayo ne bazizuula nga kino kyaddiridde okukwata Ivan Musoke n’ayogera nti pikipiki enzibe mwe zikuumirwa oluvannyuma ne ziddamu okutundibwa.
Yategeezezza nti poliisi ekyakola okunoonyereza okuzuula nannyini paakingi wamu n’okuzuula bannannyini pikipiki zino nga yeekenneenya abalina ebiwandiiko ebizoogerako.