Amawulire

Abagambibwa okubaako ne kye bamanyi ku bubbi bwa pikipiki 16 bakwatiddwa poliisi

Emu ku pikipiki ezuuliddwa mu Kampala nga yabadde ebbiddwa okuva e Wakiso ate endala 15, ne zikukunulwa mu paakingi emu eya Prime Day and Night e Wakiso.

Abagambibwa okubaako ne kye bamanyi ku bubbi bwa pikipiki 16 bakwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti baliko kye bamanyi ku pikipiki 16 ezigambibwa okuba enzibe, ezizuuliddwa poliisi.

Emu ku pikipiki ezuuliddwa mu Kampala nga yabadde ebbiddwa okuva e Wakiso ate endala 15, ne zikukunulwa mu paakingi emu eya Prime Day and Night e Wakiso.

Abakwatiddwa, kuliko John Tumwebaze ne Fred Kabugo abagambibwa nti pikipiki baabadde bagibbye okuva ku Benon Muwezi e Wakiso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire akoowodde abantu okugenda ku poliisi e Wakiso, beekenneenye pikipiki zino, okuzuula oba nga mulimu ezo ezababbibwako.

Mu ngeri y'emu era Owoyesigyire agambye nti waliwo emmotoka nayo gye baazudde e Kasangati nga yabadde ebbiddwa era abantu babiri nabo ne bakwatibwa ku bunyazi buno.

Tags:
Pikipiki
Bubbi
Kukwatibwa
Polisii
Kubba