Poliisi e Nsangi, ezudde pikipiki eyabadde ebbiddwa okuva e Katereke, ababbi bwe baasibye omuguwa wakati mu luguudo ne bayimiriza nnyiniyo ku kifuba.
Kigambibwa nti ababbi baasibye omuguwa mu kkubo ekiro, olwo omuvuzi wa bodaboda nnamba UMA 895 GN n'agugwamu ne bamusika ne bagimuggyako.
Kigambibwa nti n'omusaabaze yabadde mu lukwe nti kuba bakira ayamba ku babbi okusika owabbooda okuva ku pikipiki nti n'oluvannyuma n'abulira mu nsiko.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti oluvannyuma pikipiki baagisudde e Kasenge zzooni mu Kikajjo e Kyengera T/C.
Agasseeko nti era poliisi ezudde pikipiki endala nnamba UDJ 362B egambibwa nti ababbi gye baabadde beeyambisa mu bubbi.