KAMPEYINI ku kifo kya Nabakyala e Mutungo zooni II zikomekkerezeddwa wakati mu bugumu avuganya ku kifo kino, Milly Nabaggala Sumin bw’ayisizza ebivvulu okwetoloola ekyalo kyonna n’asannyalaza emirimu nga bw’awerekerwako abawagizi be wakati mu ssanyu.

Nabaggala akutte akazindaalo nga ali n'abawagizi be
Kyokka ono aweze okukola kyonna ekisoboka okulaba nga embeera z’abakyala zitumbulwa naddala bwekituuka ku mbeera z’ebyobulamu nga n’abavubuka abawala balina ebyabwe ebibasomooza ebirina okukolebwako.

Nabaggala akutte akazindaalo ku ddyo nga ali n'abawagizi be
Nabaggala akukulumidde abo bonna abogera ebigambo eby’obulimba nti abo bagenderera kutabula nga tebalina kubafaako.
Oluvannyuma Nabaggala agumizza abakyala nga bw’agenda okulwana ku mbeera zaabwe naddala nga ayita mu kubateerawo embeera ebasobozesa okukola emirimu gyabwe nga tebatataaganyiziddwa