Amawulire

Batongozza tekinologiya omupya okulwanyisa ababadde bafera abasuubulira emitala w'amayamnja

ABASUUBUZI abeegattira awamu mu kibiina kya KACITA naddala abo abasuubula eby'amaguzi emitala w'amayanja basanyukidde enkola empya eya tekinologiya omusaabaze  we yeeyambisiza essimu y'omu ngalo okugula tiketi y'ennyonyi.

Akola nga ssentebe w'ekibiina Kya KACITA Issa Ssekitto bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI abeegattira awamu mu kibiina kya KACITA naddala abo abasuubula eby'amaguzi emitala w'amayanja basanyukidde enkola empya eya tekinologiya omusaabaze  we yeeyambisiza essimu y'omu ngalo okugula tiketi y'ennyonyi.

Akola nga ssentebe w'ekibiina ky'abasuubuzi mu Kampala Issa Ssekitto yategeezeza nti abasuubuzi bangi babadde basanga okusomoozebwa okw'okuferebwa saako n'okuguzibwa tiketi ku bbeeyi eya waggulu ennyo naye kati enkola eno empya yaakuyambako ku kumalawo okusomoozebwa kuno.

Okwogera bino yabadde yeetabye ku mukolo kkampuni y'ebyempuliziganya eya MTN kwe yatongoleza enkola ya tekinologiya omupya eyatuumiddwa " Travel with MoMo" nga gwe wenna ayagala okugenda ebweru w'eggwanga osobola okugyeyambisa okugula tiketi ekutambuza .

Abakulu mu kkampuni ya MTN bwebabadde batongoza enkola empya eya tekinologiya etuumiddwa " Travel with MoMo"

Abakulu mu kkampuni ya MTN bwebabadde batongoza enkola empya eya tekinologiya etuumiddwa " Travel with MoMo"

Akulira MTN MoMo, Phrase Lubega yagambye  nti enkola eno egya kukendeeza ku budde n'ensimbi abantu ze babadde bamala nga bagenda ku ofiisi okugula tiketi, ate nga era egya kubayamba okwewala abantu ababadde babaguza tikiti ez'ebbeeyi ennyo .

Yagasseeko nti kye kiseera Bannayuganda beeyunire enkozesa ya tekinologiya eno okulaba nga banguya enkola  y'emirimu.

Mu kutongoza enkola eno MTN era yasse omukago ne  kkampuni ya Next Travels ne Amadeus Uganda okulaba nga empeereza eno ebeerera ddala ya mulembe ate ennyangu ey'okukozesa .

Tags:
KACITA
MTN MoMo
Next Travels