Amawulire

Nnamukadde agambibwa okufera obukadde 90 asuze Luzira!

NNAMUKADDE w’emyaka 75 kkooti emuggalidde ku bigambibwa nti yafuna ssente mu lukujjukujju.

Nnamukadde agambibwa okufera obukadde 90 asuze Luzira!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

NNAMUKADDE w’emyaka 75 kkooti emuggalidde ku bigambibwa nti yafuna ssente mu lukujjukujju.

 

John Kiggundu Kato omutuuze w’e Ganda mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Jaliah Basajjabala eyamusomedde omusango gw'okufuna obukadde 90 mu lukujjukujju.

Kato Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Ogw'okufuna Ssente Mu Lukujjukujju.

Kato Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Ogw'okufuna Ssente Mu Lukujjukujju.

Kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2025 Kato yasisinkana Chrisostom John Sseninde n’amugamba nga bwe yali alina bizinensi eyitibwa Bulemezi General Enterprise gye yali ayagala okwanjulira omukulembeze w’eggwanga asobole okumuyamba okujongeramu ssente.

 

Bizinensi eno yali ekola mu kusuubula bya bulimi lwakuba ekiwandiiko ekimukkiriza okukola kyali kiweddeko kwe kusalawo yeekwate Kato amuyambeko mu kugoba ku by’okuzza layisinsi ye obuggya.

 

Ono yakirizza era n'atandika okumuwa ssente ezaawera obukadde 90 wabula nga tewali kigenda mu maaso, yasalawo okumusaba embalirira ku ngeri gy’abadde asaasaanyamu ssente n’alemwa okunnyonnyola okutuusa lwe yaggyako amasimu ge

 

Sseninde yalaba biri bityo kwe kuggulawo omusango Kato n’akwatibwa okutuusa lwe yaleeteddwa mu kkooti ne bamusomera omusango gw'okufuna ssente mu lukujjukujju n’agwegaana.

 

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Alice Madanda yategeezezza ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwongera okunoonyereza.

 

Ono yasindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga August 6 okuwulira okunoonyereza ku musango guno we kunaabera kutuuse.

Tags:
Nnamukadde
Kufera
Kkooti
Kusula
Luzira