Amawulire

Omujaasi asse eyali muganzi lwa kufumbirwa walala nga taliiwo

Ekikangabwa kigudde mu zooni ya Kibira cell B e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, agambibwa okuba omujaasi bw'alondodde muganzi we n'amukuba amasasi agamusse.

Omujaasi asse eyali muganzi lwa kufumbirwa walala nga taliiwo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ekikangabwa kigudde mu zooni ya Kibira cell B e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, agambibwa okuba omujaasi bw'alondodde muganzi we n'amukuba amasasi agamusse.

Omugenzi bw'abadde afaanana

Omugenzi bw'abadde afaanana

Kigambibwa nti omujaasi ono abadde yaakava e Somalia gy'agambibwa nti abadde amazeeyo emyaka 5, nti n'asanga nga mukazi we aliko gye yafumbirwa mu Kibira cell B e Masajja mu Ssaabagabo Makindye munisipaali e Wakiso.

Kitegeezeddwa nti bwe yatuuse mu nnyumba omuli mukazi we n'emmundu, ne beesibiramu okuva ku ssaawa nga 2:00 ekiro nti ne batandika okulwana.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, Wasswa Luwandagga, agambye nti baakubidde poliisi eyazze n'ekonkona, omujaasi n'agaana okuggulawo, nga n'ekyaddiridde kwabadde kukuba mukazi masasi agaamusse, naye ne yetta.

Kitegeezeddwa nti agambibwa okuba omusiguze nti naye nga mujaasi, teyabaddemu. Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika e Mulago okugyekebejja.

Tags:
Somalia
Kitalo
Kutta
Mateeka
Kufa