Abakulira ebyetambula ebye’nyonnyi mu Uganda aba Uganda civil Aviation Authority basunsudde kampuni ezaagala okutandika okusaabaza abantu mugwanga era nga bano babadde Kampala nga bali mumaaso ga bamu kubakulira emirimu kukisawe kyenyonyi ne kigendelerwa kyokufuna Licence oba e bisanyizo ebibakiriza okukola mu Uganda .

Justice Steven Kavuma Sentebe wa Kakiiko akatwaala ekisawe kye nnyonyi e Ntebe nga ayogerako eli abakozi bokukisawe kye nnyonyi e Ntebe
Sentebe wa Kakiiko kano justice Kavuma agambye nti okususula okugenze bulungi era basubiramu birungi byoka mukutambuza bulungi abantu nga bakozesa entambula ye nyonnyi.
Uganda elina ebitongole bye ennyonyi 19 ebikozesa ekisaawe kyenyonnyi Entebbe okugenda nokuletta abasabazze era nga nakati ekitongole kye nyonnyi egwanga eya Uganda Airlines kati esabaza abantu okuva mu mawanga 23 ngenjawulo okuli Ghana, Somalia, Londan, Algeria,Brazil,Iceland , United states of America namawanga amalala mangi .