Amawulire

2 bakwatiddwa mu kubbisa emmundu e Nangabo

POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abagambibwa okubeera mu kabinja k’ababbisa emmundu abagambibwa okuteega loole esuubiza ebyokunywa ne baginyaga n’okukuba amasasi.

Abaakwatiddwa mu kubbisa emmundu e Nangabo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abagambibwa okubeera mu kabinja k’ababbisa emmundu abagambibwa okuteega loole esuubiza ebyokunywa ne baginyaga n’okukuba amasasi.

Oluvannyuma badduse kyokka mu kubawondera, baabakutte n’emmundu ekika kya AK- 47 n’amasasi 58. Kino kyaddiridde poliisi okukola okunoonyereza ku bunyazi obwaliwo nga July 14, 2026 ku Rafik Gardens e Kiti mu ggombolola y’e Nangabo, abazigu bwe baalumba loole esuubuza bbiya ne babba.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, oluvannyuma lw’abazigu okubba n’okukuba amasasi agaakwasa maneja wa Rafik Gardens, poliisi ebadde ku muyigo okuzuula abazigu bano era gye byaggweeredde ng’ekutte babiri.

“Abazigu b’emmundu baalumba mmotoka ya bbiya ne bakuba amasasi ne banyaga abantu abaaliwo. Twakutte babiri n’okuzuula emmundu n’amasasi era eneteekateeka zikolebwa okuzuula bannaabwe abalala,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti mu kikwekweto kino, poliisi yakutte Michael Mutyaba ne Paul Bazalanga era abaserikale ne bazuula emmundu Ak47, magaziini 2 nga zirimu amasasi 58 n’ebyambalo ebye faanaanyiriza eby’amagye nga kiteeberezebwa nti bye bambala nga bagenze ku misoni.

Tags:
POLIISI
bbiya
amasasi.
Luke Owoyesigyire