OMULAMUZI David Matovu okugaana okuyimbula Lukwago yeesigamye ku kirayiro kya ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti n'agamba nti taleese bbaluwa okuva mu kkomera eraga nti obulwadde obumuluma bubalemeredde
Omulamuzi era agambye nti Erias Lukwago yaatukiriza byonna kyokka okusaba kwe n'akwesigamya ku fayiro ya kkooti e Makindye ng'ate baali bamaze okumusindika mu kkooti enkulu.
Ebbaluwa ye Mulago yakakasibwa akulira eddwaliro eryo Dr Rosemary Byanyima nti Mulago terina byuma byekebejja mbeera ya Lukwago ng'ate n'abasawo tebasobola bitereeza kuba si beebaabiteekamu.
Kyokka ekirayiro ky'oludda oluwaabi kyebassaamu ekyakubwa Joseph Kyomuhendo baawakanya okusaba Kwa Lukwago nga bagamba ssinga ayimbulwa tajja kudda mu kkooti ng'ate musajja munnabyabufuzi owamanyi Alina obusobozi okutataaganya obujulizi n'okunonyereza.
Ekirayiro kya Kyomuhendo era yagamba nti Lukwago taleese bbaluwa yonna okuva mu ddwaliro lya Murchison Bay e Luzira gyakuumirwa ng'abasawo baayo bakakasa nti tebasobola mbeera yabulamu bwe era omulamuzi yakkatiriza ensonga eno kweyasinzidde okugaana okuyimbula Lukwago.
Omulamuzi Matovu awadde Lukwago amagezi ebbaluwa eyakolebwa ba dokita okuli Dr Norbert Orwotho, Dr Michael Mungoma, Dr Stephen Matovu, Dr Joel Kiryabwire ne Dr Edward Kironde abe Mulago agitwalire abasawo mu kkomera balabe embeera ye bamuwe obujjanjabi obweeteegisa.
Kyokka omulamuzi asambazze ebyoludda oluwaabi nti Lukwago ajja kutataganya abajulizi n'agamba nti bino byonna byakutebereeza wadde nga musajja w'amanyi ssaako ebyokugamba nti ajja kudduka ssinga ayimbulwa ku kakalu Ka kkooti.
Guno mulundi gwa kubiri nga kkooti egoba okusaba kw'okweyimirirwa Lukwago ng'okwasooka kwagobwa omulamuzi Ann Sarah Basemera owa kkooti yeddaala erisooka e Makindye eyahamba nti Lukwago ayinza okutataganya okunonyereza n'abajulizi kaali musajja wamanyi mu byobufuzi by'eggwanga lino.
Abajja okweyimrira Lukwago okuli munnmaateeka Katumba Chrisestom,Sewankambo Abdul, omubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke, 57 neyali omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante era omulamuzi Matovu agambye nti basaanide era kkooti yazudde nga Lukwago Alina amaka agenkakkalakira e Wakaliga Bulwa zooni mu ye Lubaga.
Wabula omulamuzi agambye nti omuwandiisi wa kkooti yamaze dda enteekateeka zokuwaayo fayiro ya Lukwago ew'omulamuzi agenda okuwulira omusango ng'omukuyimbula mu kiseera kino kibeera kijja kutataganya enteekateeka zokuwulira omusango bwatyo naalagira omuwandiisi wa kkooti okulondoola ebiwandiiko ebyasindika Lukwago mu kkooti enkulu omusango guwulire amangu ddala.
Lukwago awolerezebwa Medard Lubega Sseggona, Samuel Muyizi Mulindwa, Lawrence Kabuye, Abubakar Ssekanjako, Joseph Ssewungu Gonzaga , Proscovia Kunihira n'abalala