Amagye geegaanye eby’okubeera n’eyali omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi.

Muwanga Kivumbi Lwe Yalabikira Ku Kkooti Gye Buvuddeko Nga Tannayimbulwa
Musasizi agambye nti bakimanyi nti Muwanga Kivumbi yayimbulwa ku kakalu ka kkooti wabula eby’okuddamu okumukwata tebalina kye babimanyiiko.
Ayongeddeko nti ekirayiro kya muganda wa Kivumbi, Hajji Musa Lutaaya kye bassaamu nga balumiriza amagye okuwamba n’okusiba Kivumbi kikyamu era abalumiriza amagye ku nsonga eyo bagendererdde kuttattana ekifanaanyi ky’amagye kye bazimbidde ebbanga eddene era ababitambuza bajja kuteekebwa ku nninga bannyonnyole gye babiggya.
Musasizi agamba nti tewali bukakafu bwonna buleeteddwa kukakasa nti Muwanga Kivumbi yaggalibwa mu bumenyi bw’amateeka era bakebedde mu bifo by’amakomera g’amagye byonna ebimanyiddwa mu mateeka nga tebalinaayo Kivumbi.
Amagye era gategeezezza nti okusaba abooluganda kwe bassaamu tekutuukiridde kubanga tebalina yenna gwe balinako bujulizi nti ye yatwala Muwanga Kivumbi.
Kivumbi yawambibwa ku loodi bbulooko e Mpigi bwe yali adda e Butambala nga yaakamala essaawa mbale ng’ayimbuddwa omulamuzi Suzan Okalanyi owa kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna.
Ono avunaanibwa n’abalala 23 ku misango egyekuusa ku ku by’obutujju egigambibwa nti baagizza oluvannyuma lwa kalulu ka bonna akaaliwo nga January 15 ,2026.
N’okutuusa kati Muwanga Kivunbi tamanyiddwa mayitire ge ekyawalirizza abaffamire okuddukira mu kkooti ekake abamulina okumuleeta oba mulamu oba mufu.