Amawulire

Akulira okuteekeratekera ababundabunda mu office ya Katikkiro wa Uganda Patrick Okello asindikiddwa mu kkomera e Luzira

Kamisona ateekerateekera ababundabunda mu wofiisi ya Kattikiro wa Uganda Patrick Okello asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw'okuggulwako emisango gy'okukozesa obubi wofiisi.    

Okello ng'ali mu kkooti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Everest Mukiibi 

Kamisona ateekerateekera ababundabunda mu wofiisi ya Kattikiro wa Uganda Patrick Okello asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw'okuggulwako emisango gy'okukozesa obubi wofiisi.

Okello avunanibwa wamu ne Noel Ikwap amyuka akulira ebya Tekinologiya mu wofiisi ekola ku nsonga za banoonyi b'obubudamu   nga bombi basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Esther Asiimwe owa kooti ewozesa abakenuzi ne basomerwa emisango.

Bano bebamu ku bakamisona omusanvu abaakwatibwa kaliisoliiso wa gavumenti gyebuvuddeko ku misango gyokukozesa obubi wofiisi n'okubulankanya ensimbi.

Okello ng'ali mu kaguli ka kkooti

Okello ng'ali mu kaguli ka kkooti

Oludda oluwaabi lutegezeezza nti bano ababiri wakati wa January wa 2025 ne May wa 2026 baakozesa bubi obuyinza bwabwe bwebajeemera ekiragiro kya  minisita w'ababundabunda  Hilary Onek  eyabagaana okuwandiika ababundabunda 184 okuva mu ggwanga lya Eritrea kyokka nebabawandiika ekikolwa ekikontana ne nsonga ezaali ziviiriddeko gavumenti okugaana  okubawandiika.

Bano era tebakoma okwo wabula wakati wa December wa 2025 ne May  wa 2026 nga minisita amaze okwekenneenya ensonga zino nabakkiriza okuwandiika ababundabunda bano ate bajeemera ekiragiro kye ekyokubawandiika basobole okubudamizibwa ku bigambibwa nti baalina ekigendererwa ekyokusooka okubajjako ensimbi.

Abawaabi ba Gavumenti okuli Luteete Mikka,Diana Nantabaazi ne Kaweesi Pius bategezeezza kooti nti okunoonyereza ku misango gino kunatera okuggwa era mu bbanga lya sabiiti ssatu bagenda kubuulira kooti byebanaaba bazudde.

Banamateeka babawawabirwa okuli Ainamaani Junior Kenneth ne Moses Opio basabye omulamuzi ayimbule abantu baabwe ku kakalu ka kooti kyokka nekitasoboka kubanga babadde tebetegese bulungi

Okello ng'ali mu kaguli ka kkooti

Okello ng'ali mu kaguli ka kkooti

Ainamaani ategezeezza nti Okello alina obulwadde bwomutima era nolunaku lweggulo yabadde alina okugenda ku Uganda Heart institute e Mulago abakugu bongere okumwekebejja naye  tekyasobose kubanga yabadde talina lukusa.

Omulamuzi Asiimwe amutegezeezza nti empapula eziwereddwayo okukakasa ebikwata ku bantu ababadde bagenda okumweyimirira tezimatiza kyokka nga noludda oluwaabi lutekeddwa okuweebwa obudde okuzetegereza.

Ate ye Noel Ikwap tasobodde kweyimirirwa kubanga munamateeka we Moses Opio atuuse kikereezi mu kooti.

Omulamuzi  ataddewo olwa nga 10 omwezi ogujja ogwomunaana okuddamu okuwulirirako okusaba kwabano okwokweymirirwa kyokka nalagira ekitongole kyamakomera okuwa Okello obukuumi agende e Mulago abakugu bamwekebejje omutima ng'embeera ye tennaba kusajjuka.

Tags: