Amawulire

Poliisi ekutte 150 mu wiiki y'okulonda bassentebe

Abantu 150 be baakwatiddwa mu biseera by'okulonda kwaba LC 1 okuva nga July 28 okutuuka nga Aug 1 mu Kampala n'emiriraano.

Poliisi ekutte 150 mu wiiki y'okulonda bassentebe
By: Godfrey Kigobero and Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu 150 be baakwatiddwa mu biseera by'okulonda kwaba LC 1 okuva nga July 28 okutuuka nga Aug 1 mu Kampala n'emiriraano.

78 ku bano, baatwaliddwa mu kkooti ku misango egy'enjawulo omuli okulumya, okulwana, n'okwenyigira mu kukola effujjo n'emisango emirala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abamu ku baakwatiddwa, kuliko Moses Kiwanuka ne Muhammad Mutebi abagambibwa okugezaako okutta omulonzi e Luwunga Naama Mukono, bwe baamusikambudde mu lunyiriri ne bamufumita ebiso.

Ate e Kalagala Kisoga e Mukono, waliwo omu ku baabadde beesimbyewo , embuzi ze 4 baaziwadde obutwa.

Ate poliisi e Katwe eriko abatuuze b’omu Kibira cell B be yakutte nga beekalakaasa bwe baasazeeko oluguudo ne bafumbiramu emmere, nga balaga obutali bumativu.

Tags:
Amawulire
150
LC1
Kampala