Amawulire

Omuliro ogukutte ebbajjiro gwokezza omuvubuka n'afiiramu n'okwonoona ebintu

Gubadde mu zzooni ya Kigumba e Kibuli mu Kabalagala mu Kampala, bwe gukutte ebbajjiro lya Kakande ne gusaasaanira n'obuyumba obubadde buliraanyeewo.

Omuliro ogukutte ebbajjiro gwokezza omuvubuka n'afiiramu n'okwonoona ebintu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuntu atannamanyika ng'ali wakati w'emyaka 15 okutuuka ku 20 afiiridde mu muliro ogukutte ebbajjiro e Kabalagala.

Gubadde mu zzooni ya Kigumba e Kibuli mu Kabalagala mu Kampala, bwe gukutte ebbajjiro lya Kakande ne gusaasaanira n'obuyumba obubadde buliraanyeewo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiraano , Racheal Kawala, agambye nti ebintu ebiwerako nabyo bitokomokedde mu muliro so nga n'omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago, ng'okunoonyereza ku kivuddeko omuliro, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kufiiramu
Bbajjiro
Muliro
Kwonoona