POLIISI e Wakiso ekutte abantu basatu okuli n'abakuumi mu paakingi, oluvannyuma lw'okusanga emmotoka enzibe ng'esimbiddwa mu kifo kye bakuuma e Kiteezi.
Kigambibwa nti nnyini yo bwe yali agivuga nga July 26, emmotoka yafunamu obuzibu n'agitwala e Katwe nti n'oluvannyuma makanika n'agimuddiza nti kyokka enkeera ne bagibba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bagizudde Kiteezi e Kasangati mu Wakiso , kwe kukwata abaserikale n'omuntu omulala omu wamu ne pikipiki egambibwa okuba enzibe
Mu kusooka Kawala ategeezezza nga bwe baakutte abantu 559 mu bikwekweto eby'enjawulo ebyakoleddwa mu wiiki ewedde ku bumenyi bw'amateeka .