Amawulire

Poliisi eyigga omusajja eyasse muganda we olw'okumuwa ekibaluwa kya poliisi ku by'enkaayana z'ettaka!

George Nalugoda 68 omutuuze w'e Namuwondo A mu muluka gwe Ituba e Namutumba, y'ayiggibwa ku bigambibwa nti yasse muganda we George Patrick Kakaire 78 n'abulawo.

Poliisi eyigga omusajja eyasse muganda we olw'okumuwa ekibaluwa kya poliisi ku by'enkaayana z'ettaka!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Namutumba eyigga omusajja ow'emyaka 68 agambibwa okutta muganda we ow'emyaka 78 olw'enkaayana z'ekibanja eky’obusika.

George Nalugoda 68 omutuuze w'e Namuwondo A mu muluka gwe Ituba e Namutumba, y'ayiggibwa ku bigambibwa nti yasse muganda we George Patrick Kakaire 78 n'abulawo.

Kyaddiridde Nalugoda okuweebwa kibakuntumye okuva ku poliisi e Namutumba omugenzi gye yamuloopa olw'okwonoona ebintu bye ku kibinja kya kitaabwe omugenzi Yosamu Nalugoda kya bakaayanira.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti ono bwe yafunye ekibaluwa n'alumba Kakaire n'akimuyuliza mu maaso ge n'okumukubira mu ntebe mwe yabadde atudde n'agwa wansi n'afa  n'abulawo era bamuyigga.

Tags:
Amawulire
Namutumba
Kutta
Kibaluwa
Poliisi