Amawulire

Poliisi etegeezezza nti emisango 1002 gye gyaloopebwa ku poliisi omwaka oguwedde

EMISANGO 1002 egy'oku kukusa abantu, gye gyaloopebwa ku poliisi ez'enjawulo mu mwaka oguwedde 2025.

Poliisi etegeezezza nti emisango 1002 gye gyaloopebwa ku poliisi omwaka oguwedde
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

EMISANGO 1002 egy'oku kukusa abantu, gye gyaloopebwa ku poliisi ez'enjawulo mu mwaka oguwedde 2025.

Okusinziira ku alipoota eyafulumizidda, ku bano 555 baali baana bato abali wansi w'emyaka 18, ate  447 baali bakulu. Abantu 1,272 baayisibwa bubi mu mbeera eno ate 139 baali baana balenzi so ng'ate 479 baali baana bawala.

344 baali basajja ate 310 baali bakazi naye ng'ebitundu 97 ku buli 100, okukusa kuno, kwali munda mu ggwanga.

Omu ku balwanyisa okukusa abantu mu minisitule y'ensonga z’omunda mu ggwanga, Derrick Kigenyi, agambye nti 431  baaziyizibwa okufuluma nga baakukusibwa ate abagwira 87 nabo baataasibwa.

Tags:
Amawulire