POLIISI efulumizza amannya g'abantu 14, abafiiridde mu kabenje e Kamuwunga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Takisi ya Drone eyaweddewo mu Kabenje
Mu Drone mubaddemu abantu 16 era nga ku bbo, 14 bafudde ,ababiri ne batwalibwa mu ddwaaliro e Masaka okufuna obujanjabi wamu n'abalala ababiri ababadde mu Sino Truck. Mu kiseera kino, poliisi eyigga dereeva wa sino Truck.
Abalala Lawrence Sebuuma 34 Mabaale Kifuufu e Kyotera, Margret Nabbosa 36 w'e Ziroobwe Luwero, Veronica Nabulime, ne muwalawe ng'abadde naye, Moses Kizza 27, Innocent Irora 39 w'e Kyegegwa ng'abadde akolera mu Cocacola e Namanve.
Kuliko Sgt Nabukenya nga musirikale wa poliisi, n'abalala babiri, abatannamanyika bibakwatako.

Sino truck badde etisse omusenyu eya tomedde 'Drone' ku luguudo lw'e Masaka,
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye , agambye nti abalumiziddwa kuliko Edward Kaiga 22 ng'ono abadde musaabaze mu Sino truck , n'abantu abalala babiri , ababadde abasaabaze mu takisi. omulala omu abadde mu sino truck tannamanyika bimukwatako.