ABASAJJA bana abagambibwa okusobya ku baana abatanneetuuka n'omu ne bamufunyisa olubuto, bakwatiddwa poliisi.
Ate e Kawempe , poliisi ekutte abasajja babiri okuli Yusufu Kadomola ne Daniel Bagaya ku bigambibwa nti baasobezza ku muwala ow'emyaka 13 okuva mu zzooni ya Ssebaggala ne bamufunyisa olubuto.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti omwana agamba nti abasajja 3 be babadde bamukabasanya era nga poliisi eri mu kunoonya omulala owookusatu.
Kawala ayongeddeko nti e Wandegeya Jackson Mugisha 52, naye akwatiddwa ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana ow'emyaka esatu nga nnyina yeewunguddeko.