Amawulire

Poliisi ekutte bakagwensonyi 4 ku by'okusobya ku bbujje eritanneetuuka

ABASAJJA bana abagambibwa okusobya ku baana abatanneetuuka n'omu ne bamufunyisa olubuto, bakwatiddwa poliisi.

Poliisi ekutte bakagwensonyi 4 ku by'okusobya ku bbujje eritanneetuuka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABASAJJA bana abagambibwa okusobya ku baana abatanneetuuka n'omu ne bamufunyisa olubuto, bakwatiddwa poliisi.

Luisi Madibo 32 omutuuze w'e Bukoto mu diviizoni y’e Nakawa mu Kampala, y'omu ku baakwatiddwa ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana ow'emyaka omukaaga , bwe yabadde akyalidde nnyina.

Ate e Kawempe , poliisi ekutte abasajja babiri okuli Yusufu Kadomola ne Daniel Bagaya ku bigambibwa nti baasobezza ku muwala ow'emyaka 13 okuva mu zzooni ya Ssebaggala ne bamufunyisa olubuto.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano,  Racheal Kawala, agambye nti omwana agamba nti abasajja 3 be babadde bamukabasanya era nga poliisi eri mu kunoonya omulala owookusatu.

Kawala ayongeddeko nti e Wandegeya Jackson Mugisha 52, naye akwatiddwa ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana ow'emyaka esatu nga nnyina yeewunguddeko.

Tags:
Poliisi
Kukwata
Baana