Amawulire

Abatta Suzan Magara balaajanye obutaweebwa kibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba

Bayise mu munnamateeka waabwe Richard Kumbuga ne batuusa okusaasira kwabwe eri ffamire , emikwano n’eggwanga lyonna olw’okufiirwa Suzan Magara ne bategeeza nti teri muntu yenna asaanye kufa mu ngeri bw’etyo .

Abatta Suzan Magara balaajanye obutaweebwa kibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Bayise mu munnamateeka waabwe Richard Kumbuga ne batuusa okusaasira kwabwe eri ffamire , emikwano n’eggwanga lyonna olw’okufiirwa Suzan Magara ne bategeeza nti teri muntu yenna asaanye kufa mu ngeri bw’etyo .

Baategeezezza nti nga abazzi b’omusango abasooka basaana ekibonerezo ekisaamusaamu mu kkooti eno.

Ngoggyeeko Wasswa ne Kato, abasigadde bategeezezza nti be baali balabirira ffamire zaabwe nga Nakandi yalina omwami n’abaana ate n’abalala baalina ffamire omuli abakyala n’abaana abeetaaga obuyambi bwabwe.

Wadde abawaabi ba gavumenti basabye kya kufa ate ng’eggwanga lyafiirwa omuwala omuto , baagambye nti eggwanga teririna kye liganyulwa  omuntu omu okufa ate attise abalala mwenda.

Tags:
Magara
Abantu
Abatemu