SSAABAWAABI wa Gavumenti aggaddewo obujulizi bwe mu musango gw’okuwamba n’okutta Suzan Magara.
Magara yali mubazi wa bitabo ku ffaamu ya Bwendero Diary Farm ku luguudo Kabakanjala e Mengo yawambibwa nga February 7,2018 omulambo gwe ne guzuulibwa nga February 27,2018 e Mutungo Kitiko ku lw’e Ntebe Express Highway.
Ono yali muwala wa John Magara ne Immaculate Magara nga baawamba muwala waabwe baasaba ssente ezisukka mu buwumbi bubiri kyokka ne babasalirako ne basaba obukadde 700.
Abantu mwenda okuli; Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamir Ssali, Hajarah Nakandi, Abubaker Kyewolya, Mahad Kisaliita, Ismail Bukenya, ne Abas Musa Buwembo be baakwatibwa.
Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Irene Nakimbugwe be baakulembeddemu abajulizi 43 okuggusa omusango.
Abawawabirwa bawolerezebwa John Kabagambe, Richard Kumbuga, Zaina Nabukenya ne Peter Wanda.
Abajulizi abasembyeyo kuliko omukugu wa poliisi mu kwekebejja abasuubirwa okuzza emisango Dr. Emmanuel Nuwamanya yabadde mu Kkooti Enkulu mu Kampala maaso ng’omulamuzi Alex Mackay Ajiiji n’abuulira kkooti bye yazuula mu kwekebejja abantu mwenda abaali bakwatiddwa nga basuubirwa okuba nti baali bazizza emisango.
Nuwamanya nga y’amyuka akulira ekitongole kya poliisi eky’ebyobujjanjabi yagambye nti ku bantu be yeekebejja yazuula nga Hajarah Nakandi yalina enkovu ku kibegabega, mu mugongo ne ku kabina nga zirabika yazifuna wiiki bbiri oba ssatu emabega, Abubaker Kyewolya naye yalina enkovu mugongo nga za wiiki nga ssatu emabega. Abalala abaalina enkovu kwaliko Hassan Kato ne Musa Abbas Buvumbo nazo zaali za wiki ntono embega