OMUDUUMIIZI wa magye g’eggwanga, Gen Muhoozi Kainerugaba asabye kkooti egobe okusaba kwa Dr. Besigye n’omuyambi we kwe bassaamu nga bagamba nti alinnyiridde eddembe lyabwe okubeera ne balooya.

Besigye ne Lutale lwe baali mu kkooti gye buvuddeko
Bano baagambye nti Besigye ne Lutale balina balooya abasukka mu 50 okuva mu kkampuni 13 ng’ate waliwo n’abalala abatalina kkampuni mwe bava ababawolereza.
Gen Muhoozi ne Ssaabawolereza baagambye nti ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti tebalonderangako bannamateeka wadde okubaako n’engeri yonna gye babayingirira nga kkooti yennyinyi y’efubye okulaba nga bafuna okukiikirirwa obulungi ng’eyongezaayo n’omusango buli lwe basaba, okusobozesa bannamateeka baabwe okubakiikirira obulungi, kuno kw’ogatta kkooti okubawa olukalala lwa bannamateeka balondeko.

Gen. Muhoozi Kainerugaba
Besigye ne Lutale baagamba nti okugobwa kwa Karua kwali kumenya mateeka era kulinnyirira eddembe lyabwe okubeera ne balooya kyokka ssaabawolereza agamba nti bano balimba kubanga kkooti ng’eyita mu ssiga eddamuzi yabateerawo omukutu kwe bayita okugoberera ebigenda mu maaso mu kkooti n’ebweru w’eggwanga.
Muhoozi ne gavumenti era bagamba nti Besigye ne Lutale tebassangamu kusaba kwonna nti Karua agoberere ng’asinziira bweru wa ggwanga, kkooti n’ekugoba.
Era bongeddeko nti Besigye ne Lutale tebayise mu makubo natuufu okuwakanya okugoba Karua mu Uganda era bagamba ntii ensonga ya Karua balina kuyita mu Uganda Citizenship and Immigration Control Act ne basaba kkooti okwekennwenya obuwaayiro bwayo Muhoozi ne Gavumenti mwe baayita okutikka Karua ppaka Kenya.
Baayongeddeko era nti eky’okuzzaayo Karua tekirina we kikwataganira na kulinnyirira ddembe lyabwe mu nnyingo 28 eya ssemateeka w’eggwanga.
Muhoozi ne ssaabawolereza era basabye nti mu byonna tewali kuliyirirwa kulina kuweebwa Besigye ne Lutale.
Bano bagenze okwanukula nga Besigye ne Lutale baasabye kkooti ebakkirize okuwa Muhoozi empapula z’empaaba nga bayita mu mpapula za mawulire. Balinze nsala y’omulamuzi Simon Peter Kinobe ku nsonga eyo nga August 13, 2026.