Amawulire

Besigye ayagala okuvunaana Lukwago kuyimirizibwe bunnambiro!

KKOOTI enkulu mu Kampala yaakuwulira omusango gwa Dr. Kiiza Besigye n’omuyambi we Hajji Obed Lutale gwe baawawaabiwa omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba nga bawakanya eky’okutikka munnamateeka Martha Karua ne bamuzza e Kenya.

Besigye ayagala okuvunaana Lukwago kuyimirizibwe bunnambiro!
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI enkulu mu Kampala yaakuwulira omusango gwa Dr. Kiiza Besigye n’omuyambi we Hajji Obed Lutale gwe baawawaabiwa omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba nga bawakanya eky’okutikka munnamateeka Martha Karua ne bamuzza e Kenya.

 

Besigye ne Lutale bawawaabira Muhoozi nga bagamba yamenya mateeka okuzzaayo Karua ssaako okumulangirira ng’omuntu ateetaagibwa mu Uganda era taddamu okulinnya ekigere kye wano.

Lutale ne Besigye mu kkooti.

Lutale ne Besigye mu kkooti.

Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, omusango guno guweereddwa omulamuzi Simon Peter Kinobe okusalawo oba Gen. Muhoozi yamenya mateeka okugoba Karua.

 

Ebbaluwa yamyuka omuwandiisi wa kkooti, Samuel Twakyire yalagidde Besigye ne Lutale okuwa Gen. Muhoozi ne ssaabawolereza wa gavumenti empaaba yaabwe era abakozi ku bya tekinologiya mu kkooti baakagiddwa okuyunga Besigye ne Lutale ku nkola ya ECCMIS etambuza ebiwandiiko era Besigye aweereze Gen Muhoozi olwo ne Muhoozi ayanukule ng’ayita mu nkola y’emu.

 

Omulamuzi Kinobe olwo ajja kuwa ensala ye nga August 13,2026 . Besigye ne Lutale bagamba nti Gen Muhoozi okuzzaayo Martha Karua n’amugoba wano baakikola kubalemesa kufuna bannamateeka be baagala okubawolereza mu misango gy’okulya mu nsi olukwe egibavunaanibwa.

 

Bano era bagamba nti ekitongole ekikola ku Bantu abayingira mu ggwanga kyakola mu bumenyi bw’amateeka okussaako Karua ekiwandiiko ekimugoba kuno kubanga tebaasooka kumuwulira ng’ate ensonga kwe baasinziira okumuzzaayo si y’emu kwezo eziragirwa okugoba omuntu mu ggwanga olwo ne batyoboola eddembe lye ng’ate tawuliriziddwa.

 

Besigye ne Lutale era balumiriza nti okukwata  Loodi mmeeya Erias Lukwago ne bamuvunaana baabiggya ku kyakubeera nga yali abawolereza noolwekyo baagala kkooti erangirire nti okuvunaana Lukwago baakikola lwa byabufuzi ssaako okutaataaganya enkola ya mateeka.

 

Baasabye kkooti eyimirize amangu ddala eby’okuvunaana Lukwago ate gavumenti emusasule byonna ebituusiddwako n’okukosebwa kwonna olw’okukwatibwa era n’avunaanibwa n’asindikibwa mu kkomera gy’akuumirwa Kati.

 

Lukwago yakwatibwa bwe yali agenda okutwalira Gen. Muhoozi empaaba ku lwa Besigye mu musango gw’okulinnyirira eddembe ly’obuntu Besigye gy’agamba nti gyaliwo bwe yakwatibwa ne Lutale e Kenya ne batikkibwa okudda kuno ne bavunaanibwa, ate Karua yakomezebwa ku kisaawe Entebbe bwe yali ajja okuwolereza Lukwago.

Tags:
Amawulire
Dr. Kiiza Besigye