Abantu babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'emundu n'okutemula abantu, bakwatiddwa poliisi.
Bano kuliko Micheal Mutyaba ne Paul Bazalanga era nga mu kubakunya, kigambibwa balonkomye awali emmundu ekika kya AK 47 ne magaziini bbiri nga mulimu amasasi 58 , poliisi n'egizuula wamu n'ebyafaananyiriza e byambalo by'ekijaasi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ,Luke Oweyesigyire, agambye nti okuva olwo, babadde babalondoola okutuusa lwe bakutteko babiri nga bakyayigga n'abalala abali mu kibinja kino.