Amawulire

Babiri bakwatiddwa lwa kwenyigira mu bubbi bw'emundu n'okutemula abantu,

Abantu babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'emundu n'okutemula abantu, bakwatiddwa poliisi. 

Omu kubakwatiddwa mu bubbi bw'emundu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'emundu n'okutemula abantu, bakwatiddwa poliisi. 

Bano kuliko Micheal Mutyaba ne Paul Bazalanga era nga mu kubakunya, kigambibwa balonkomye awali emmundu ekika kya AK 47 ne magaziini bbiri nga mulimu amasasi 58 , poliisi n'egizuula wamu n'ebyafaananyiriza e byambalo by'ekijaasi. 

Okubakwata, kidiridde ababbi abemmundu nga July 14 ku Rafik Gardens mu Kiti A cell e Nangabo mu Wakiso, bwe baafumbikiriza loole ya bbiya ne balumya dereeva ne bakuba ne manegya wa Rafik Gardens amasasi ne babba bakasitooma amasimu n'ebintu ebiwerako ne babulawo. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ,Luke Oweyesigyire, agambye nti okuva olwo, babadde babalondoola okutuusa lwe bakutteko babiri nga bakyayigga n'abalala abali mu kibinja kino. 

Tags:
abemmundu
Rafik Gardens
Luke Oweyesigyire