Amawulire

Minisita awabudde ku beekweka mu kwerula ensalo ne babba ebibanja

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja  alabudde abeebibanja obutaddamu kuwa abeeyita abeebyapa omwagaanya okupunta ettaka nga kino kye bayitamu okubakaka okubasasula bave ku bibanja byabwe oba okubalagira okwegula n’olumu okubagobako n’eryaanyi.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja  alabudde abeebibanja obutaddamu kuwa abeeyita abeebyapa omwagaanya okupunta ettaka nga kino kye bayitamu okubakaka okubasasula bave ku bibanja byabwe oba okubalagira okwegula n’olumu okubagobako n’eryaanyi.
Bino yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi.

kibuuzo: Bannannyini ttaka abajja okwerula ensalo balina kukikola batya?
Okuddamu: Bwe nnabadde e Bukumula nayisiddwa bubi  olw’abantu ababba ebibanja.
Omanyi nninayo ettaka era nze bwe ng’endayo mbeera mu byange bya kulima, naye abantu bwe balaba mmotoka yange nga bajja gyendi nti, mbataase.
Ab’ettaka ate basitudde buto okulibba. Mu kusooka wali tumanyi nti, eby’okusala ku 8 Bukedde Lwakubiri March 25, 2025 amawulire Minisita Mayanja bibanja by’abantu bakikola lwa  butamanya, naye nnina obukakafu nti, emyaka ena gye mmaze nga nsomesa, baategeera ekituufu eky’okukola era kati nkikakasanti, babbi bubbi.
 Toyinza kugamba nti, nzize kukuba ttaka lyange mmanye gye likoma kuba nnina ekyapa ate nga kwonna kujjuddeko abantu ab’ebibanja. Tekiriimu makulu, ne bw’onoolikuba n’omanya ensalo zo nga lyonna liriko abeebibanja, tolina ky’ogenda kukifunamu kuba tebakwatwako.
AMATEEKA KYE GAGAMBA
Etteeka lya ssemateeka erisinga obukulu ku byettaka liri mu nnyingo eya 237 nga ligamba nti, ettaka lya Bannayuganda bonn ra nga baba nalyo nga bayita mu nkola nnya; Mailo, Customary, Leasehold ne Freehold. Ate ennyingo ya 237/8 n’egamba nti, kyokka  u mailo kusoboka okubaako ow’ekibanja ng’alina  obukuumi ku kibanja kye era takwatwako era tagobwa ku kibanja kye. Ekyo kitegeeza nti, omuntu asobola okuba nnannyini ttaka naye teweeyinula n’okwata ku w’ekibanja nga bano babeera ku Mailo ku Leasehold oba ku Freehold. Bino biri mu  ssemateeka wa Uganda.
Ate waliwo n’ababadde baddukira mu ‘District Land Board’ ne bawaayo
enguzi eri abagaba ettaka  lya disitulikiti ne babawa ettaka okuli ab’ebibanja  nga   bw’afuna liizi, ng’atandika okugobaganya ab’ebibanja kuba afunye ekyapa kya liizi, ebyo bimenya amateeka.
Ennyingo 59/A ey’etteeka ly’ettaka egamba nti, tewali kugaba liizi ku ttaka eririko ab’ebibanja oba ekitongole kya Gavumenti nga NEMA oba ekitongole ky’ebibira.
Kuno tebagabaako liizi wadde  Freehold, tekikkirizibwa, naye  olw’enguzi.....
Nnaakasazaamu ebyapa ng’ababbi babisaze ku nnyanja Nalubaale ne mu ntobazzi ate ng’etteeka weeriri era likola, teririna kuttira muntu yenna ku liisora ebyapa eby’engeri eyo tebirina kugabibwa.
Kye kimu kye kikolebwa e Bunyoro, abantu bangi gye baddukidde okuyita mu bubbi okugula ettaka balitunde obuwanana mu pulojekiti ya Systematic Land Adjudication
and Certification (SLAAC). Waliwo n’omukyala omu gwe naguddemu n’omwami we nga bali ku kakiiko akagaba ebyapa bya SLAAC ate nga bagikozesezza okwewa ebyapa.
Bwe nnababuuzizza baabiggya wa nga bagamba mbu Omukama ye yabawa. Omukama  a Bunyoro alina kuyita mu mateeka ng’agaba era bw’akuwa oba olina kuyita mu District Land Board erina obukugu n’obusobozi okuzuula oba ettaka  ryo teririiko bantu liryoke likuweebwe.
Bwe babaako, olwo Omukama aba agabye mpewo. Twalagidde  ebyapa ebyo byonna bisazibwemu n’ono omukyala bamuggye mangu ku kakiiko ako. Era nneewuunyizza lwaki ebyo abantu tebabiraba kuba eyo y’enguzi etta eggwanga. Ekyapa
ky’engeri eyo kiba kifu.
Omuntu ava eri n’agamba azze kupunta ttaka kuba afunye ekyapa kya liizi mumugobe bugobi. Bw’aba by’azze okupima biriko abantu  emumuwa na mukisa kumuwuliriza,
mumugobe bugobi. Ne bw’aba  azze n’abemmundu, tajja kuba nabo  lubeerera mumugobe. waki oli ava eri ng’awoza mbu ayagala kumanya bunene bwa ttaka,omanya bwaki ng’opima ttaka kwendi? Towa mubbi luwenda  kukubba, abantu abo mubakubire  enduulu mubeegobeko kuba omubbi olumala okupima ettaka ng’agamba nti, ng’enda kubasasula, oba nti, mwegule.
Nga mwegula ku ki ? Abantu ng’abo temulina kubakkiriza kujja kubabba.

Tags: