Amawulire

Abagambibwa okwekobaana ne batta omutuuze ow'emyaka 46 poliisi ebakutte

Kiddiridde abatemu okutta Teopista Kyakimwa 46, omutuuze w'e Rwehingo mu ggombolola y'e Nyakatonzi  e Kasese omulambo ne baguleka mu kitaba ky'omusaayi ku ffaamu e Rwehingo.

Abagambibwa okwekobaana ne batta omutuuze ow'emyaka 46 poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu Munaana abagambibwa okwekobaana ne batta omutuuze ow'emyaka 46, poliisi ebakutte.

Kiddiridde abatemu okutta Teopista Kyakimwa 46, omutuuze w'e Rwehingo mu ggombolola y'e Nyakatonzi  e Kasese omulambo ne baguleka mu kitaba ky'omusaayi ku ffaamu e Rwehingo.

Kigambibwa nti omugenzi yavudde awaka okugenda okugula emmere nti ne bamulengerako mu bbaala ya Kabugho Grace bar ng'anywa omwenge.

Kitegeezeddwa nti bazzeemu kusanga mulambo era poliisi bw'etutte embwa, n'ekwata abantu munaana okuli abasajja 5 n'abakazi basatu.

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Bwera ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Kutta
Mutuuze
Myaka
46