Amawulire

Omulamuzi abadde mu gwa Suzan Magara bamutenderezza obuvumu bw'alaze mu nsala ye

Irene Nakimbugwe, abadde akulembeddemu oludda oluwaabi mu musango gwa Suzan Magara yeebazizza omulamuzi Alex Ajiiji olw’obuvumu bw’alaze mu kuwulira omusango ate n’awa Suzan obwenkanya. 

Omulamuzi abadde mu gwa Suzan Magara bamutenderezza obuvumu bw'alaze mu nsala ye
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Irene Nakimbugwe, abadde akulembeddemu oludda oluwaabi mu musango gwa Suzan Magara yeebazizza omulamuzi Alex Ajiiji olw’obuvumu bw’alaze mu kuwulira omusango ate n’awa Suzan obwenkanya.

Amwebazizza emirimu gy’akoledde eggwanga mu kitongole ekiramuzi gye yatandika ng’omulamuzi w’eddaala ery’okubiri okutuuka lw’awumudde egy’obulamuzi ng’ali mu kkooti enkulu.

Omulamuzi Ajiiji essaawa yonna agenda kuwummula olw’emyaka gye egituuse okuwummula.

Tags:
Magara
Suzan
Buvumu