Bayise mu munnamateeka waabwe Richard Kumbuga ne batuusa okusaasira kwabwe eri ffamire , emikwano n’eggwanga lyonna olw’okufiirwa Suzan Magara ne bategeeza nti teri muntu yenna asaanye kufa mu ngeri bw’etyo .
Ngoggyeeko Wasswa ne Kato, abasigadde bategeezezza nti be baali balabirira ffamire zaabwe nga Nakandi yalina omwami n’abaana ate n’abalala baalina ffamire omuli abakyala n’abaana abeetaaga obuyambi bwabwe.
Wadde abawaabi ba gavumenti basabye kya kufa ate ng’eggwanga lyafiirwa omuwala omuto , baagambye nti eggwanga teririna kye liganyulwa omuntu omu okufa ate attise abalala mwenda.