OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu mu Kampala, Alex Ajiiji Mackay asingisizza Aloysious Tamale amanyiddwa nga Young Mulo (atali muyimbi) ne munne John Bosco Mugisha ogw'okutta aba boda n'okunyaga piki.
Bwe yabadde awa ensala eggulo, omulamuzi yagambye nti yeesigamye ku bujulizi obwakwatibwa kkamera enkessi nga bulaga abavunaanibwa nga batta Derrick Muwonge eyali omuvuzi wa boda gwe baasooka okusikambula ku piki n’oluvannyuma ne bamu kuba akayondo ku mutwe olwo ne batwala piki ye.
Ababiri bano baasooka kukola mupango ne bafuna owa boda ne bamutwala mu kifo ekyo n’ekigendererwa ky'okumubbako piki ye n'okumutta.
Kkooti yakizudde nga John Bosco Mugisha ye yakuba Muwonge akayondo n’oluvannyuma ne batwala piki gye baatunda emitwalo 60.
Wabula Young Mulo teyamatidde na nsala ng’agamba nti olunaku omusango lwe gwaddizibwa teyaliiwo era nga yaleeta n’obujulizi obukakasa nti yali mu kifo kirala nnyo. Yasuubizza okujulira.