KKOOTI egobye ebizibiti bya mmotoka ezigambibwa okukozesebwa mu kutambuza omulambo gwa Suzan Magara okugusuula ku Entebbe Expressway gye gwasangibwa. Omujulizi Robert Icoot yayanjulidde kkooti ebifaananyi bya mmotoka 5 ezigambibwa nti zaagulibwa abawawaabirwa ku ssente obukadde 700 ze baafuna ku bazadde b’omugenzi bwe baali bagezaako okununula muwala waabwe.
Icoot yasoose kutegeeza kkooti nti ebifaananyi bya mmotoka byakubwa mu June 2018 kyokka eyali akola ku fayiro n’abibuza olwo nga October 24, 2023 omuserikale
Jackson Okello n’addayo n’akuba ebirala.
Ebifaananyi ebireeteddwa kuliko ebya mmotoka nnamba UBB 711R eya Coasta eya bbulu nga waggulu ya kyenvu, UBD 704F ekika kya Isuzu Elf eya bbulu, UAQ 470Q Toyota Hiace enjeru ne UAV 138G Isuzu Elf.
Icoot yagambye nti mmotoka nnamba UBB 993J y’egambibwa okutambuza omulambo gwa Suzan Magara okugusuula e Kitiko.
Kyokka bannamateeka b’abawawaabirwa baawakanyizza lipoota eno nga bagamba nti talina lukusa kuleeta bifaananyi by’ataakuba.
Ekirala, emmotoka ezoogerwako tewali bujulizi bukakasa nti zaasangibwa n’abavunaanibwa kubanga tebaaleese ndagaano kwe zaagulirwa. Looya w’abawawaabirwa John Kabagambe yategeezezza Omulamuzi Alex Ajiiji Mackay ali mu musango guno mu kkooti enkulu nti, ng’oggyeeko nnamba za mmotoka ezitakwatagana, ebifaananyi bye baaleese byakubwa mu 2023 nga n’omusango gwatandika dda okuwulirwa.
Wabula omuwaabi wa gavumenti Joseph Kyomuhendo bino yabisaabuludde bwe yagambye nti ekiseera ky’okuwaayo endagaano n’ebiwandiiko bya mmotoka tekinnatuuka noolwekyo tebalina kupapa. Omulamuzi Ajiiji yagaanyi lipooti ya Icoot n’ebifaananyi bye yaleese n’alagira oludda oluwaabi luleete eyakuba ebifaananyi omwaka oguwedde abyanjulire kkooti.