Amawulire

Poliisi ezudde ente 10 ezigambibwa okuba enzibe mu kikwekweto kyayo

Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP, Sam Twineamazima ategeezezza nti kino kyaddiridde amawulire g'ekikessi oluvannyuma lw'abantu babiri abaabadde baliko ente ze batunda ku kyalo Nakalikirya mu  Lwampanga Town Council  mu disitulikiti y'e Nakasongola.

Poliisi ezudde ente 10 ezigambibwa okuba enzibe mu kikwekweto kyayo
By: Samuel Kanyike, Journalist @New Vision

POLIISI y'e Nakasongola ekoze ekikwekweto mw’ezuulidde ente 10 ezigambibwa okubeera enzibe.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP, Sam Twineamazima ategeezezza nti kino kyaddiridde amawulire g'ekikessi oluvannyuma lw'abantu babiri abaabadde baliko ente ze batunda ku kyalo Nakalikirya mu  Lwampanga Town Council  mu disitulikiti y'e Nakasongola.

Poliisi yayungudde bassajja baayo abaagudde ku bantu bano n'ente 10 ezigambibwa okubbibwa ku mutuuze ku kyalo Kiyanja n'ekwatako omu omulala n'amalamu omusulo kyokka naye oluvannyuma n'emukwata.

Twineamazima ategeezezza nti banoonyereza kyokka n'asiima abantu abaagiwadde amawulire gano n'abasaba okugenda mu maaso basobole okufuuza ababbi b'ente

Tags:
Nakasongola
Amawulire
Nte
Poliisi
nzibe