Amawulire

Poliisi y'ebidduka etaddewo amateeka amakakali eri bbaasi ne ttakisi ezigenda okutambuza abayizi nga badda awaka

Ng'abayizi bawummula, poliisi y'ebidduka etaddewo amateeka amakakali eri bbaasi ne ttakisi ezigenda okutambuza abayizi nga badda awaka.

Poliisi y'ebidduka etaddewo amateeka amakakali eri bbaasi ne ttakisi ezigenda okutambuza abayizi nga badda awaka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ng'abayizi bawummula, poliisi y'ebidduka etaddewo amateeka amakakali eri bbaasi ne ttakisi ezigenda okutambuza abayizi nga badda awaka.

Mmotoka zonna, ziteekeddwa okutandika okutambula okuva ku ssaawa 12:00 ez’oku makya era nga tezirina kusukka 12:00 ez’olweggulo.

Bbaasi zonna, abazivuga, balina okubeera ne bbaagi ne pamiti nga zikkirizibwa ate nga takisi nazo zirina olukusa oluzikkiriza okutambuza abantu.

Mmotoka zonna, ziteekeddwa okwekebejjebwa bamakanika era nga waliwo ne lipoota ekakasa obulamu bwazo.

Ebidduka byonna ababivuga, balina okugoberera ebiragiro n'amateeka agafuga enguudo n'ebidduka ku makubo.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, alabudde okwewala okutikka akabindo, okwewala endiima, okwewala okuyisiza mu bifo ebikyamu okwewala okutaataaganya abayizi n'okwewala obubenje.

Tags:
Bayizi
Mateeka