Poliisi mu disitulikiti y’e Hoima eyigga omusomesa eyeebulankanyizza okuva ku mulimu n’apangisa omutuuze ku kyalo amusomeseze mu kifo kye kyokka nga talina bisaanyizo bya busomesa.
Kigambibwa nti ono abadde agufudde mugano nga tayagala kusomesa kyokka bamuzudde mu kikwekweto ekyakoleddwa ku masomero nga galambulwa, ekyakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti eno, Uthuman Mugisha.
Mugisha alagidde Atugonza akwatibwe wamu n’abakulira essomero lino kubanga n’omuntu gwe yaleeta akole mu kifo kye abaddenga akozesa mannya ga Atugonza era ng’asula ne mu bisulo by’abasomesa ku ssomero lino.
Bwe baatuuse okulambula ebibiina, Wembabazi we yategereedde nti ‘gimuwunyidde’ n’abuuka ng’ayita mu ddirisa n’abulawo era tebazzeemu kumukubako kyamulubaale.
Omumyuka w’omukulu w’essomero akwatiddwa n’aggyibwako sitaatimenti ku poliisi era ssentebe Mugisha ategeezezza nti n’omukulu w’essomero yennyini wadde tebamusanzeeyo bagenda kumunoonya abitebye.
Ayongeddeko nti omuze gw’abakozi ba gavumenti okwebulankanya ku mirimu gweyongedde kyokka ne gukosa empeereza za gavumenti eri abantu.