Amawulire

Eggye ly’amawanga g’obuvanjuba ezzibizi litendekeddwa okukuuma emirembe ku mutendera gwa nsi nyonna!

EGGYE ezzibizi ery’amawanga g’obuvanjuba bwa Afirika liraze essuubi lye lirina mu ggye lya UPDF mu bumalirivu bw’ebikwekweto n’okukuuma emirembe mu kitundu kyabwe oluvannyuma lw’okugezebwa okuwa obuweereza bwe bumu ku mutendera gw’ensi yonna.

Eggye ly’amawanga g’obuvanjuba ezzibizi litendekeddwa okukuuma emirembe ku mutendera gwa nsi nyonna!
By: Joseph Mutebi, Journalist @New Vision

EGGYE ezzibizi ery’amawanga g’obuvanjuba bwa Afirika liraze essuubi lye lirina mu ggye lya UPDF mu bumalirivu bw’ebikwekweto n’okukuuma emirembe mu kitundu kyabwe oluvannyuma lw’okugezebwa okuwa obuweereza bwe bumu ku mutendera gw’ensi yonna.

Abamu ku bannamagye abaatendekeddwa.

Abamu ku bannamagye abaatendekeddwa.

Okugezesebwa kuno kwakoleddwa wansi w’enkola y’eggye ly’obuvanjuba bwa Afrika eya” The Eastern Africa Standby Force” [EASF Activity Plan 2026] eyeekenneenya omujaasi n’emmundu gy’akozesa ebyaweereddwayo gavumenti ya Uganda okukuuma obutebenkeevu nga omu ku kaweefube w’okunyweza obutebenkevu n’emirembe mu mawanga gano okwetooloola obuvanjuba bwa Afrika.

 Brig. Stephen Maina Huria, eyakulembeddemu ekibinja ky’abakungu b’eggye ly’obuvanjuba bwa Afrika ezzibizi yasiimye eggye lya UPDF olw’obukugu bwe lirina, entendeka eri ku mutindo era ne yeeyama okugenda mu maaso n’okuwabula eggye lyonna ery’obuvanjuba bwa Afrika okutwaliza awamu.

Ebyokulwanyisa ne 'masiini' endala  ze baabawadde okubayambako mu kukuuma emirembe.

Ebyokulwanyisa ne 'masiini' endala ze baabawadde okubayambako mu kukuuma emirembe.

 “Tuli bassanyufu nnyo nti mwegasse mu mukaago guno . Era tuli mu kino ffenna kubanga bwe mubeera mu ggye lino mubeera mu bamu ku lyo. Ndi musanyufu nnyo engeri gye mutendeseemu eggye lyammwe ya kikugu nnyo” Brig. Gen. Huria bwe yategeezezza.

Aduumira ettendekero lino erya ‘International Peace Support Operations Training Centre,’  erisangibwa mu disitulikiti y’e Ssingo,  Col. Moses Nabaasa,  yagambye nti ekifo kino kisigala nga kye kimu ku matendekero agafulumya abajaasi b’obuvanjuba bwa Afrika n’abo abakuuma emirembe ku mutendera gw’ensi yonna.

Abamu ku bannamagye abaatendekeddwa nga bali ku pareedi

Abamu ku bannamagye abaatendekeddwa nga bali ku pareedi

“Obweyamo bwaffe buzze bulagibwa mu kukuuma emirembe okwetooloola ensi ez’enjawulo okuli Somalia, South Sudan, Central African Republic, DRC n’endala nnyingi, " Col. Nabaasa bwe yayongeddeko.

 Yayongeddeko nti tebalina kubuusabuusa kwonna nti eggye lyabwe lirina obukugu bwonna obwetaagisa ssinga libeera liweereddwa omukisa era lisobola okukolera mu mbeera yonna kuba beetegefu okukola ekiseera kyonna nga bayitiddwa.

Omulimu gw’okutendeka eggye lino gwatwaliddemu n’ekibinja kya poliisi ya Uganda ssaako n’abantu aba bulijjo  okusobola okutuukiriza okukuuma emirembe nga bwe kirambikiddwa omukaago gwa ‘African Union Peace & Security Architecture’.

Eggye lya EASF,  likolebwa amawanga okuli Burundi, Comoros, Djibouti, Ethiopia, Kenya, Rwanda, Somalia, Sudan, ne Uganda. 

Tags:
UPDF
The Eastern Africa Standby Force”
Mirembe
Kukuuma
Kutendekebwa