GAVUMENTI etandise eddimu ly'okuggyako amabaati ga Asbestos ku masomero gaayo aga siniya .
Omulimu guno eggye ly’eggwanga erya UPDF lye ligenda okugukola mu bbanga lya myezi 12 era akulira Makerere college School, Dr. Martin Muyingo wamu n'ekitongole kya KCCA baakwasizza UPDF kontulakiti mu butongole.
Omukolo guno gubadde ku ssomero lya Makerere College e Makerere mu Kampala. Akulira eby'okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe mu Kampala, Ying. John Mary Kaweesi ategeezezza nti omulimu guno gwonna gwavujjiriddwa gavumenti ya Uganda era nga gwatandika nga August 1,2026
Ategeezezza nti nga KCCA baakugenda mu maaso ne kaweefube w’okumalawo Asbestos mu Kampala olw’obulabe baleeta ku bulamu bwa bantu.
Muyingo yeebazizza gavumenti olw’okubawa ensimbi ezigenda okussaako amabaati ku bizimbe by’essomero ebikadde n’ategeeza nti omulimu guno gwakukolebwa mu mitendera 3 okwewala okutaataaganya emisomo .
Agumizza abazadde nti wadde nga omulimu guno gugenda mu maaso , tewali muyizi agenda kukosebwa