Amawulire

Gavumenti egenda kuggya amabaati amakadde ku masomero gaayo esseeko amapya

Eddimu lino litandikidde ku Makerere College School nga lya kuwemmenta obukadde obusoba mu 400 .

Gavumenti egenda kuggya amabaati amakadde ku masomero gaayo esseeko amapya
By: Sharon Nabasirye, Journalist @New Vision

GAVUMENTI etandise eddimu ly'okuggyako amabaati ga Asbestos ku masomero gaayo aga siniya .

 

Eddimu lino litandikidde ku Makerere College School nga lya kuwemmenta obukadde obusoba mu 400 .

 

Omulimu  guno eggye ly’eggwanga erya UPDF lye ligenda okugukola mu bbanga lya myezi 12 era akulira Makerere college School, Dr. Martin Muyingo wamu n'ekitongole kya KCCA baakwasizza UPDF kontulakiti mu butongole.

 

Omukolo guno gubadde ku ssomero lya Makerere College e Makerere mu Kampala. Akulira eby'okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe mu Kampala, Ying. John Mary Kaweesi ategeezezza nti omulimu guno gwonna gwavujjiriddwa gavumenti ya Uganda era nga gwatandika nga August 1,2026

 

Ategeezezza nti nga KCCA baakugenda mu maaso ne kaweefube w’okumalawo Asbestos mu Kampala olw’obulabe baleeta ku bulamu bwa bantu.

 

Muyingo yeebazizza gavumenti olw’okubawa ensimbi ezigenda okussaako amabaati ku bizimbe by’essomero ebikadde n’ategeeza nti omulimu guno gwakukolebwa mu mitendera 3 okwewala okutaataaganya emisomo .

 

Agumizza abazadde nti wadde nga omulimu guno gugenda mu maaso , tewali muyizi agenda kukosebwa 

 

Tags:
Amawulire
Masomero
Kukyusa
Mabaati