ABANTU abalala 2 bakwatiddwa ku by'okutta kaputeeni wa Sports Club Villa David Owor .
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti abantu abaakakwatibwa baweze bana era ne yeewera nga bwe bakyagenda mu maaso n'okuyigga bonna abaali mu lukwe , basimbibwe mu mbuga z'amateeka.
Owor yakubibwa ppeeva bwe yali adda awaka ekiro okumpi n'ewuwe e Makindye .