Ababadde beesimbyewo ku kya LC II mu muluka gw’e Kasubi bibabugumye n’abeebyokulonda abadde bazze okulondesa gye biggweeredde nga poliisi n’amagye babiyingiddemu era okukkakkana akalulu kayiise kajulidde lwa nkya.
Wabula gye byatandikidde baasoose okusoma amannya zzooni ku zzooni wakati mu byokwerinda eby’amaanyi era nga buli gwe basoma yaayingira munda ku kkanisa ya St. Peters Kawaala.
Nga balagidde abalonzi okusimba ennyiriri ku buli omu gw’awagira, Tamale alabiddwako ng’ava mu mbeera era n’ayambalira abakuliddemu eby’okulonda ng’agezaako okubalagira okuyimiriza okulonda agenda mu maaso.
Wano avuddewo bubi ne bawaanyisiganya ebisongonvu ne Hussein Wasswa atwala ebyokulonda mu Lubaga obutakola ky’ayise “obutamukwata mu kamwa” wabula nga Tamale bw’amwanukula nti “njakakwatamu”.
N’abawagizi ba Tamale bamwegasseeko ekireese embeera okwongera okutabuka era poliisi eyongedde okuyungula basajja baayo okuva ku poliisi ez’enjawulo okuli Kasubi, Kawaala, Old Kampala nga ne DPC wa Old Kampala Kenneth Massete naye talutumidde mwana.
DPC Massete agezezzaako okukkakkanya embeera era n’awalirizibwa okusooka okuggyawo Hussein Wasswa ow'akakiiko k’ebyokulonda Tamale n’oludda lwe gwe babadde beemulugunyaako, n’alagira n’amannya gaddemu gasomebwe abazibu kye batawakanyizza wabula era Tamale n’akalambira nti akalulu tekkajja kugenda mu maaso.
Azzeemu n’ayogerezeganya n’abeesimbyeewo wabula ng’enjuyi zonna ziremeddwa okukkiriziganya okukkakkana nga balangiridde akalulu kaddibwemu enkya.
Abadde bavuganya okuli Zibu ne Tamale boogedde ku bibaddewo wabula buli omu n’asigala ng’awera olunaku lw’enkya okwetikka obuwanguzi.