SHEIKH Umar Muwonge amanyiddwa nga Seeka Umar ow’e Nansana kkooti emulagidde yeewozeeko ku misango gy’okukabassanya omwana atanneetuuka egimuvunaanibwa. Seeka Umar yategeezezza nti agenda kusooka kukwata Quran alayire alyoke yeewozeeko.

Seeka Umar bwe yabadde mu kkooti eggulo.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi okufundikira abajulizi baalwo. Seeka Umar agambye agenda kukwata Quran alayire olwo yeewozeeko.
Agambye nti alina n’abajulizi abalala mukaaga okuli ne muwala we bamuyambeko awuute omusango. Ono avunaanibwa kukabassanya mwana atanneetuuka gwe yali alabirira.