ABAKULEMBEZE ba Teso nga bali wamu n'ekitongole ekivunaanyizibwa okutumbula eby'obulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board, bategese omwoleso gw'eby'obuwangwa bwa Teso n'ekigendererwa eky'okutumbula eby'obulambuzi saako n'okumanyisa eby'obulambuzi ebiri mu kitundu kino eri ensi.
Bano ababadde bakulembeddwaamu Minisita avunaanyizibwa ku by'obulambuzi mu kitundu ky'e Teso Charles Eweku babulidde abaamawulire nga eby'obuwangwa mu kitundu kyabwe bwe bibadde biserebye nga kibadde kyetaagisa okuddamu okubimanyisa naddala abavubuka ab'omulembe guno.

RDC Paul Eseri, Minista w'ebyobuwangwa bwa Teso Charles Eweku n'abalala bwe bategese omwoleso gw'ebyobulambuzi e Teso
Teso kitundu ekimanyiddwa olw’obuwangwa bwakyo obw’enjawulo, ebyafaayo n’ennono ez’enjawulo nga kati bategese omwoleso gwe baatuumye " Emmaali Cultural Festival 2026"
Eweku era mumativu nti kiggya kuyambako n'okwongera okutumbula ebyenfuna mu kitundu kyabwe.

Akulira ba RDC mu bitundu by'e Teso, Paul Eseri nga yoomu ku batuula ku lukiiko olutegesi olw'omwoleso guno yagambye nti gwakuggulawo omukisa ogw’okulaga ensi obugagga bwa Teso, okuggulawo emikisa mu by'obusuubuzi, okutunda ekitundu eri bamusigansimbi, n’ebintu ebirala ebisobola okutumbula ebyenfuna by’abantu baabwe.
Omwoleso guno gwakubeerayo wakati wa 24 ne 25 October 2026 mu kisaawe e Kololo wansi w'omulamwa oguvuga nti " Okujaguza eby'obuwangwa n'okukuuma n'okwongera okuzimba ebyafaayo bya Teso " .