Jose Chameleone agenze Zanzibar
Abade yaakava e Tanzania gye yaweereddwa n’engule nga omu ku bayimbi abasinze okutumbula olulimi ‘oluswayiri’.
Kati Amawulire agafulumye okuva mu ekibiina kya Leone Island Music Empire kyakulira galaga nga bw’agenze e Zanzibar.
Eno yalondedwa nga omu ku bayimbi abagenda okuyimba ku omwoleso gwa ‘Kizimkazi Festival’ ogwatandise wiiki eno.
Omwoleso guno gwagguddwawo Pulezidenti wa Zanzibar Hussein Ali Mwinyi era gutumbula obulambuzi, obuwangwa n’enkulakaulana era gubeerawo buli mwaka.