EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'eddagala mug gwanga kiwabudde Bannayuganda okutunuulira sayizi ya kondomu nga tebanneetaba mu buzannyo okutaasa abakyala okwettika embuto ze bateetegekedde n'okufuna endwadde ezitali zimu.
Babadde bakyazzizza akakiiko akavunaanyizibwa okulondoola entambuza y'emirimu mu bitongole bya gavumenti (COSASE) okukakasa ebyo ebyalabikira mu lipooti y'omubalirizi w'ebitabo bya gavumenti 2024/2025.
Kitimbo yagambye nti Bannayuganda basaanye okumanya nti kondomu ziriko sayizi nga bonna abeemulugunya ku zaabika nga akazannyo tekannaggwa babeera baagula sayizi ezitali zaabwe.
Mu Uganda yagambye nti okunoonyereza okwakolebwa, abasajja abasinga beenkana mu sayizi era nga bambala mirimita 53 ng’ abakozeza obwa mirimita 56 obukyasinze obunene be batono.
Okunnyonnyola kiddiridde omubaka Stella Atyang (mukazi/Moroto) okwagala okumanya ekituufu oluvanyuma lw’okuwulira nti mu 2020 abasajja abaakozesanga kondomu kika kya ‘lifeguard’ tebaali bamativu na mutindo gwazo ne yeewuunya engeri abantu gye baatandika okuzikozesa ng’ekitongole tekisoose kuzigezesa
Wano Kitimbo ng’ali wamu n’akulira ekitongole David Nahamya bakakasizza kondomu ezo okuba nga zaali tezituukaganye na mutindo era ne bagumya omubaka nti zonna ezaali mu tterekero zaayokyebwa.
Yakkubirizza abasajja okusooka okumanya sayizi zaabwe nga tebannagula bupiira nti kubanga zibeera ziwandiikiddwako ku ngulu .
Yalambuzza ababaka ebyuma eby’enjawulo ebikozesebwa mu kugezesa kondomu era n’ategeeza nti ku buli kondomu 500,000 bagezesaako 88 nga ssinga emu yokka yeezuulibwa ng’erimu ekituli bakitwala nti tezirina buzibu
Mu kugezesa , batunuulira obugumu bwayo nga bakozesa empewo okuzuula obungi bwayo eyinza okugiviirako okwabika.
Omukka guno bateekamu gwa kyubiki ssentimita emu nga ssinga eyabika kabonero akalaga nti n’abasajja abalina amaanyi agasukka mu kigero ekyo babeera bajja kujaabya eky’obulabe eri obulamu bwabwe.
Ekika kyonna ekigezesebwa ne kyabika Katimbo yagambye nti tekikkirizibwa kutundibwa eri bantu okusobola okubakuuma nga balamu.
Ssentebe w’akakiiko Muwada Nkunyigi (Kyadondo East) yabuubizza oba nga baali bawabudde minisitule y’ebyobulamu okutegeeza Bannayuganda okufaayo ku sayizi za kondomu n’ategeeza nti baakukikola mu mwaka gw’ebyensimbi guno
Ababaka era, bayagadde okumanya oba kondomu z’abakyala nazo ziri ku katale nga ez’abasajja wabula mu kwanukula yagambye nti abakyala baazizira nga tebazikozesa era abaali bazisuubula amaanyi ne gabaggwa.
Mu bimu ku byalabikira mu lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti nga yeemulugunya ku bifo ebyazimbibwa n’ekigendererwa eky’okubifuula labalatole akakiiko kakakasizza nga byafuulibwa ofiisi era ne basaba ekitongole okwennyonnyolako mu buwandiike.