Amawulire

Obukadde 900 ezaali ez'enguudo zikwasizza abakozi ba gavumenti 2 e Pakwach

MINISITA wa gavumenti z'ebitundu, Balaam Barugahara aliko abakozi ba disitulikiti y'e Pakwach basatu b'alagidde bakwatibwe ku bigambibwa nti baabulankanya obukadde 900 ezaasindikibwa gavumenti okukola enguudo.

Obukadde 900 ezaali ez'enguudo zikwasizza abakozi ba gavumenti 2 e Pakwach
By: James Magala, Journalist @New Vision

MINISITA wa gavumenti z'ebitundu, Balaam Barugahara aliko abakozi ba disitulikiti y'e Pakwach basatu b'alagidde bakwatibwe ku bigambibwa nti baabulankanya obukadde 900 ezaasindikibwa gavumenti okukola enguudo.

Oluguudo lwe baabadde baakayiwa nga lulaga lupya.

Oluguudo lwe baabadde baakayiwa nga lulaga lupya.

Abaakwatiddwa kuliko, Tawuni Clerk wa Panyimur Tawuni Kanso, Simon Adriko ne Ying.

Omeri Bonny ng'okukwatibwa kwa bano kiddiridde minisita Balaam okulambula enguudo okwabadde olwa Mugaga Road ne Food Market Road ezisangibwa mu Panyimur Tawuni Kanso n'asanga nga kkolansi alinga eyayiiriddwawo ggulo limu nga baategedde nti ajja ekyamunyiizizza n'alagira bakwatibwe.

Minisita Balaam agambye nti ababiri bano asazeewo abakwase poliisi ne State House Anti-Corruption Unit bannyonnyole butya ensimbi obukadde 900 ezaaweebwawo ku nguudo zino bwe zaasaasaanyizibwa ng'agamba nti omulimo gwe yasanze tegumatiza.

Mu kukwatibwa Adriko,agenze yeewozezzaako ng'agamba nti ye mupya era talina ky'amanyi ku muvuyo guno ng'ate ne Yinginiya Omeri naye agamba tabuzangako ssente yonna ku luguudo luno kyokka byonna tebyabayambye.

Minisita Balaam yalagidde batwalibwe era n'alagira n'eyali Tawuni Clerk wa Panyimur Tawuni Kanso, Odongo Watonga Stephen naye Poliisi emunoonye akwatibwe naye abeeko by'annyonnyola ku ssente obukadde 900 ezaaweebwayo okukola enguudo ezo.

Tags:
Packwach
Balaam
Mbalirira
Ssente
Kukwatibwa