Amawulire

Abasajja 61 basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne babasomera emisango mukaaga

Abasajja 61 basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne basomerwa emisango mukaaga, etaano ku gino gya ttemu nga kigambibwa nti batta abaserikale bataano, ate omusango omulala gwa kulumba nkambi y'amagye mu disitulikiti ye Zombo n'ekigendererwa ky'okutataganya eby'okwerinda by'eggwanga.

Abasajja 61 basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne babasomera emisango mukaaga
By: Judith Naluggwa, Journalist @New Vision

Abasajja 61 basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne basomerwa emisango mukaaga, etaano ku gino gya ttemu nga kigambibwa nti batta abaserikale bataano, ate omusango omulala gwa kulumba nkambi y'amagye mu disitulikiti ye Zombo n'ekigendererwa ky'okutataganya eby'okwerinda by'eggwanga.

Kigambibwa nti bano bonna n'abalala abatannakwatibwa  emisango gino bagizza  nga 6 March, 2020 mu disitulikiti ye Zombo bwe baalumba enkambi y'amagye ey'e Kalombo n'ekigendererwa ky'okutataganya eby'okwerinda by'eggwanga. 

Abamu ku bano era bavunaaniddwa  emisango  gy'ettemu esatu, nga kigambibwa nti batemula Cpl Godfrey Ola, Pvt Owete Osulu Solomon ne WO (warrant officer) Odongota Patrick, Lance corporal Timba Godfrey, Pvt okol Bosco

Sik 2(1)

Sik 2(1)

Emisango gibasomeddwa ssentebe wa kkooti y'amagye Lt General Andrew Gutti era bonna ne bagyegaana.

Oludda oluwaabi olukulembeddwa major Raphael Mugisha lutegeezezza nti bakyanoonyereza ku musango gino.
    
 Ku basimbiddwa mu kkooti kuliko  bishop ow'enzikiriza y'abalokole, abasawo b'ekinansi babiri, abaserikale abawummula amagye, omusomeasa wa pulayimale, abalimi, sentebe w'ekyalo e Nebbi n'abalala era nga bano bali wakati w'emyaka 24 okutuuka ku 72.

Bano kuliko enzalwa okuva mu disitulikiti ye buikwe, Jinja, Zombo, phaidha, Nebbi, Packwach ne Arua.

Ssentebe Gutti abasindiise ku alimanda mu kkomera lye  Kitalya okutuuka nga 4 January, 2022.

Tags: